Numbers 10:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yagamba Kobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani, mukoddomi we nti: “Tugenda mu kifo Omukama kye yagamba nti: ‘Nzija kukibawa.’ Jjangu naffe, tujja kukuyisa bulungi, kubanga Omukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu tugende ffenna tunakuyisanga bulungi; kubanga Mukama yasuubiza Isiraeri ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agamba mukoddomi we Hobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani nti: “Tutambula okugenda mu kifo, Mukama kye yagamba okutuwa. Mukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi. Jjangu tugende ffenna, tuligabanira wamu naawe ebirungi ebyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu ggwe ogende naffe, naffe tunaakukolanga bulungi: kubanga Mukama yayogera ebirungi ku Isiraeri.