Numbers 10:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Musa nti: “Nkwegayiridde totuvaako; ggwe omanyi awasaanye okusiisira mu ddungu, ggwe onoobeera eriiso lyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tusiisira mu ddungu era ggwe maaso gaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'amuddamu nti: “Totuleka, nkwegayiridde, kubanga ggwe omanyi we tunaayinzanga okusiisira mu ddungu, era ggwe onoogendanga otulagirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tuba tusiisiranga mu ddungu, era onoobanga gye tuli ng'amaaso.