Numbers 10:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sanduuku y'Endagaano bwe yasitulwanga, nga Musa agamba nti: “Situka, ayi Mukama, abalabe bo babune emiwabo, abakukyawa bakwetegule mangu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti, “Golokoka, Ayi Mukama! Abalabe bo basaasaane; amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti, “Golokoka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essanduuko ey'Endagaano buli lwe yasitulwanga okutandika olugendo, Musa ng'agamba nti: “Situka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaane, n'abakukyawa, badduke bave w'oli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti Golokoka, ai Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.