Numbers 10:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yabanga essibwa wansi, ng'agamba nti: Ayi Mukama, komawo eri akeesedde k'eggye lya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti, “Komawo, Ayi Mukama, eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti, “Komawo, ayi Mukama, eri emitwalo n'emitwalo gy'Abaisiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Essanduuko bwe yayimiriranga, ng'agamba nti: “Komawo, ayi Mukama, mu mitwalo n'emitwalo gy'Abayisirayeli. ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti Komawo, ai Mukama, eri obukumi obw'enkumi za Isiraeri.