Numbers 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'efuuyibwanga emu yokka, olwo abakulembeze, kwe kugamba abakulu b'ebika bya Yisirayeli, be banakuŋŋaaniranga w'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe banaafuuwangako erimu lyokka, olwo abakulu b'ebika bya Isiraeri bokka banaakuŋŋaaniranga gy'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze bokka, abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, be banaakuŋŋaaniranga w'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe banaafuuwanga erimu lyokka, kale abakulu, emitwe gy'enkumi za Isiraeri, banaakuŋŋaaniranga gy'oli.