Numbers 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'ofuuwanga n'okuwenyaako, abaasiisira ku ludda lw'ebuvanjuba nga basitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ensiisira eziri ku ludda lw'ebuvanjuba banaatandikanga okutambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebugwanjuba banaatandikanga okutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaagafuuwanga okugalaya, ensiisira eziri ku luuyi olw'ebugwanjuba zinaatambulanga.