Numbers 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ofuuwanga n'okuwenyaako emirundi ebiri, ab'emaserengeta nga basitula; enfuuwa y'eŋŋombe y'eriba akabonero akabawenyaako basitule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu omulundi ogwokubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiikaddyo zinaatambulanga. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu olw'okulagira abantu okutambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaagafuuwanga omulundi ogwokubiri nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebukiikaddyo banaatandikanga okutambula. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu, olw'okulagira abantu okutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaagafuuwanga okugalaya omulundi ogw'okubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo zinaatambulanga: banaagafuuwanga okugalaya olw'okutambula kwabwe.