Numbers 10:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Aroni, bakabona, be banaafuuwanga eŋŋombe. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakkondeere; era ganaabanga gye muli etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ab'olulyo lw'Arooni be banaafuuwanga amakondeere ago. Ekiragiro ekyo munaakikuumanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakondeere; era ganaabanga gye muli tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.