Numbers 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eyo mu nsi yammwe bwe mubanga mugenda ku lutalo okulumba abalabe ababalumbye, mufuuwanga eŋŋombe; olwo Omukama Katonda wammwe agenda kubajjukira, abawonye mu mikono gy'abalabe bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe munaatabaalanga omulabe abajooga mu nsi yammwe, munaafuuwanga amakkondeere nga mugasirisaamu; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, naye anaabalokolanga okuva eri balabe bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu nsi yammwe bwe munaatabaalanga olutalo okwetaasaako abalabe ababali obubi, kale munaafuuwanga amakondeere ago nga musirisaamu, Nze Mukama Katonda wammwe ne ndyoka mbajjukira mmwe, ne mbawonya abalabe bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaatabaalanga mu nsi yammwe omulabe abajooga, kale munaafuuwanga amakondeere okugalaya; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaalokokanga mu balabe bammwe.