Numbers 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne batandika okwemulugunya olw'ebizibu ng'Omukama awulira. Omukama bwe yakiwulira, obusungu bwe ne bwesera, omuliro gw'Omukama ne gukoleera mu bo, ne gwokya ekitundu ky'olusiisira ekisembayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne beemulugunyinyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako; Mukama n'abawulira, obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwaka mu bo ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako. Mukama bwe yawulira, n'asunguwala. Omuliro gwe ne gwaka mu bo, ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne baba nga beemulugunya, nga boogera bubi mu matu ga Mukama: Mukama bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwokya mu bo, ne gulya ku nkomerero y'olusiisira.