Numbers 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'awulira ng'abantu bakaaba, buli nnyumba ku mulyango gwa weema yaabwe. Obusungu bw'Omukama ne bwesera nnyo; Musa naye n'alaba ng'akabi kazze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'awulira abantu nga bakaaba amaziga mu nda zaabwe zonna, buli muntu ku mulyango gw'eweema ye: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka nnyo: Musa n'anyiiga.