Numbers 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze naba olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nabazaala olyoke oŋŋambe nti: ‘Mbakwatire mu mikono gyange ng'omujjanjabi bw'asitula akaana akawere,’ mbatwale mu nsi gye walayirira okuwa bajjajjaabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nnabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti, ‘Basitule mu kifuba kyo ng'omulezi w'omwana bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze naba olubuto ne nzaala abantu bano bonna, olyoke oŋŋambe nti: ‘Basitule mu kifuba, ng'omulezi bw'asitula omwana ayonka’, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? nze nabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti Basitule mu kifuba kyo nga kitaawe w'omwana omulezi bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajja baabwe?