Numbers 11:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze obw'omu siyinza kuwanirira bantu bano bonna; omugugu gumpitiriddeko obuzito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga banzitooweredde nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sirina bwe nnyinza kwetikka buvunaanyizibwa bwa bantu bano bonna nzekka. Ekyo kinzitooweredde nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga bayinze okunzitoowerera.