Numbers 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba bw'oti bw'onompisa, waakiri nzita kati; nkwegayiridde, obanga nsanze ekisa mu maaso go, tondeka kulaba bwe mbonaabona.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga bw'oti bw'ogenda okunkola, nkwegayiridde, nsaasira, onzitire ddala mangu kaakano, nneme kulaba nnaku bwe nti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga bw'oti bw'ogenda okumpisa, nkwegayiridde waakiri nzita mangu kaakano, nneme okubonaabona bwe nti.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'ononkola bw'otyo, nzitira ddala mangu ago, nkwegayiridde, oba nga ndabye ekisa mu maaso go; nneme okulaba ennaku zange.