Numbers 11:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abakadde nsanvu abasajja ng'obaggya mu bakadde ba Yisirayeli, ggwe b'omanyi nti bakulu mu bantu era abaami baabwe, obaleete ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, bayimirire awo wamu naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde ba Isiraeri, b'omanyi nga bakulu era abakulembeze abassibwamu ekitiibwa; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu, abassibwamu ekitiibwa mu Yisirayeli, b'omanyi nga bakungu, era nga bakulembeze ba bantu, obaleete ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu ab'oku bakadde ba Isiraeri, b'omanyi okuba abakadde b'abantu n'abakulu abanaabafuganga; obaleete ku weema eyokusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.