Numbers 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu bagambe nti: ‘Mwetukuze mwetegekere olw'enkya, kubanga enkya mujja kulya ennyama; anti mpulidde nga mukaaba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye? Twali bulungi mu Misiri.” Omukama ajja kubawa ennyama, ate mujja kugirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era gamba abantu nti, “Mwetukulize olunaku olw'enkya, era munaalya ennyama kubanga Mukama awulidde okukaaba kwammwe nga mwemulugunya nti ani anaatuwa ennyama okulya? Kubanga mugamba nti twali bulungi mu Misiri; Mukama ky'anaava abawa ennyama ne mulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano gamba abantu nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olunaku olwenkya. Mujja kulya ennyama. Mukama awulidde bwe mukaaba nga mwebuuza anaabawa ennyama mulye, nga mugamba nti mwali bulungi mu Misiri. Kale Mukama anaabawa ennyama ne mulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era gamba abantu nti Mwetukulize olunaku olw'enkya, era mulirya ennyama: kubanga mukaabidde amaziga mu matu ga Mukama nga mwogera nti Ani alituwa ennyama okulya? kubanga twali bulungi mu Misiri: Mukama kyaliva abawa ennyama, ne mulya.