Numbers 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula mwezi mulamba okutuusa lw'eneebafulumira mu nnyindo, ebatame n'okubatama, kubanga mwegaana Omukama ali mu mmwe, ne mukaaba mu maaso ge nti: “Lwaki ye twava mu Misiri?” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa; kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwemulugunya nti, ‘twaviiraki e Misiri?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe ne muginyiwa, kubanga mwesammudde Mukama ali mu mmwe, ne mwemulugunyiza mu maaso ge nga mugamba nti mwaviira ki mu Misiri!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa: kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwogera nti Ekyatuggya ki mu Misiri?