Numbers 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addamu nti: “Abantu be nnimu, abasobola okuyimirira ku magulu gaabwe, bali obusiriivu mukaaga, ate ggwe ogamba nti: ‘Nzija kubawa balye ennyama mwezi mulamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba nti, “Abantu be ndi nabo, abasajja abatambuza ebigere bawera emitwalo nkaaga (600,000), naye ogambye nti ndibawa ennyama bagiriireko omwezi omulamba!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Abantu be ndi nabo bawera abasajja emitwalo nkaaga. Ggwe n'ogamba nti onoobawa ennyama bagiriire omwezi mulamba?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba nti Abantu be ndimu wakati, be basajja abatambula n'ebigere obusiriivu mukaaga: naye ogambye nti Ndibawa ennyama baliireko omwezi omulamba.