Numbers 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endiga n'ente zonna nga zittiddwa zinaabamala okusobola okukkuta? Oba ebyennyanja byonna mu nnyanja nga bikwatiddwa binaabakkusa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaabattiranga endiga n'ente nezibamala? Oba banaabavubiranga ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja biryoke bibamale?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo amagana g'endiga n'ente agayinza okubattirwa ne gabamala? Ne bwe babakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna mu nnyanja, biyinza okubamala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banaabattiranga endiga n'ente okubamalanga? oba balibakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja okubamalanga?