Numbers 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amwanukula nti: “Olowooza kino Omukama kimuli kizibu? Kale nno ojja kulaba obanga kye nsuubizza tekiituukirire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama guyimpawadde? Kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli oba nedda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu Musa nti: “Obuyinza bwange buliko ekkomo? Kaakano ojja kulaba oba nga kye njogedde kinaatuukirira, oba nga tekiituukirire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Omukono gwa Mukama guyimpawadde? kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli nantiki si weewaawo.