Numbers 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'afuluma, n'abuulira abantu Omukama bye yali agambye. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ng'abaggya mu bakadde mu Yisirayeli, n'abayimiriza awo ku Weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama; n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'afuluma, n'ategeeza abantu Mukama by'ayogedde. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ku bakulembeze b'abantu, n'abateekawo ne bayimirira okwetooloola Eweema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama: n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ab'oku bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema.