Numbers 11:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'akka mu kire n'ajja gy'ali, n'addira ku mwoyo ogwali mu Musa n'awaako abasajja abakadde ensanvu. Omwoyo bwe gwabakkaako, ne balanga, naye tebaayongera nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku Musa; n'aguteeka ku bakadde ensanvu (70) awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne balekera awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'akkira mu kire, n'ayogera ne Musa. N'atoola ku Mwoyo eyali ku Musa, n'amuteeka ku bakulembeze ensanvu. Mwoyo olwakka ku bo, ne batandika okulanga, kyokka baakoma awo tebaddamu mulundi mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku ye, n'aguteeka ku bakadde ensanvu: awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne bakomya awo.