Numbers 11:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu lusiisira waali wasigaddeyo abasajja babiri, omu ng'ayitibwa Eludadi ate omulala Medadi, nabo omwoyo gwabakkako. Nabo baali bamenyeddwa mu bakadde abaalondebwa, naye bo nga tebazze ku Weema; bo ne balanga nga basinziira mu lusiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema, ne balagulira mu lusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ku bakulembeze ensanvu, babiri Elidaadi ne Meedaadi baali basigadde mu lusiisira, nga tebafulumye kujja ku Weema. Mwoyo n'akka ku bo, ne batandika okulanga nga bali mu lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema: ne balagulira mu lusiisira.