Numbers 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuvubuka n'addukanako n'abuulira Musa, n'agamba nti: “Eludadi ne Medadi baabali balanga eri mu lusiisira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa, n'agamba nti, “Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo omulenzi eyadduka n'agenda abuulira Musa nti: “Elidaadi ne Meedaadi bali eri mu lusiisira balanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa n'agamba nti Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.