Numbers 11:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yoswa mutabani wa Nuunu omuyambi wa Musa okuva mu buvubuka bwe, n'ayanukula n'agamba nti: “Mukama wange Musa, bayimirize.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange Musa, bagaane.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza wa Musa, era omu ku basajja be abalondemu, ayitibwa Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'addamu ng'agamba nti: “Mukama wange Musa, bagaane!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde, n'addamu n'agamba nti Mukama wange Musa, bagaane.