Numbers 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Musa nti: “Okwatiddwa obuggya ku lwange; singa nno abantu b'Omukama bonna baali balanzi, ng'abawadde mwoyo we?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba nti, “Okwatibbwa obuggya olw'ekifo kyange? Nze nnandyagadde wakiri, Mukama abantu bonna abawe Omwoyo gwe, bonna babe bannabbi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'amuddamu nti: “Olumirwa nnyo ekitiibwa kyange? Nze nandyagadde, Mukama abantu be bonna abawe Mwoyo we, babe balanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba nti Obuggya bukukutte ku lwange? abantu bonna aba Mukama singa bannabbi, Mukama singa abateekako omwoyo gwe!