Numbers 11:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empewo n'efuluma ew'Omukama n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja n'ezigwa mu lusiisira. Zaabikkirira okwetooloola olusiisira ebbanga nga lya lugendo lwa lunaku lulamba ku buli luuyi, ate ng'okuva ku ttaka zeetuumye emikono ebiri obugulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embuyaga n'eva eri Mukama, n'ereeta enkwale okuva mu nnyanja nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mikono ebiri okuva ku ttaka, n'ezisuula okwetooloola olusiisira, mu bbanga nga lya lugendo lwa lunaku olumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asindika embuyaga, n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja, nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mita emu okuva ku ttaka, ne zigwa kumpi n'olusiisira okulwetooloola, ne zibuna mu kibangirizi ekya kilomita eziwerako ku buli ludda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empewo n'efuluma eri Mukama, n'ereeta obugubi okuva ku nnyanja, n'ebugwisa mu lusiisira, ng'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luno, n'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luli, okwetooloola olusiisira, ng'emikono ebiri okutuuka ku ttaka we bwali.