Numbers 11:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennyama yali ekyabali mu kamwa, nga bakyali mu kulya, tebannamalawo, obusungu bw'Omukama ne bweserera ku bantu, n'abakubamu ekibonerezo ekinene ennyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'abasuulamu kawumpuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali batandise okulya ennyama eyo kyokka nga tebannagimalawo, Mukama n'abasunguwalira nnyo, n'abasuulamu obulwadde obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'akuba abantu ekibonyoobonyo kinene nnyo.