Numbers 11:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo ekyo ne kiyitibwa Kiburoti Attaava, kubanga eyo gye baaziika abantu abaali bayoyezza emmere endala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava, kubanga we baaziika abantu abaaluvuwalira ennyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Entaana z'Okwoya”, kubanga mwe baaziika abantu abaayoya ennyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kibezosukataava: kubanga we baaziika abantu abeegomba.