Numbers 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abamu abalalulalu mu bo ne batandika okwoya emmere endala; Abayisirayeli ne baddamu nate okukuba emiranga nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina ky'abannamawanga ekyali mu bo ne batandika okwoya ennyo nga beegomba okulya ku nnyama; n'abaana ba Isiraeri nabo ne beemulugunya nga bagamba nti, “Ani anaatuwa ennyama okulya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'omu kibinja ky'abagwira abaali batambula n'Abayisirayeli, ne booya nnyo okulya ennyama. Abayisirayeli nabo ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina eky'abasenze ekyali mu bo ne batanula okwegomba: n'abaana ba Isiraeri nabo ne bakaaba amaziga nate, ne bagamba nti Ani anaatuwa ennyama okulya?