Numbers 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twenyiyiddwa; amaaso gaffe mpaawo kirala kye galaba wabula manu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano twetamiddwa. Tetulina kya kulya kyonna kirala, wabula emmaanu eno yokka buli lunaku.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano amaanyi gonna gatuweddemu. Tetukyalina kyakulya kye tulabako, wabula mannu eno yokka!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kaakano obulanu bwaffe bukalidde ddala; tewali kintu n'akatono: tetulina kintu kye tuba twesiga wabula emmaanu eno.