Numbers 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manu yali nga bw'olaba akasigo ka jjada oba ng'aka budelliyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era emmaanu yaliŋŋanga obusigo obutono nga bweruyeru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mannu yali efaanana ng'obusigo bw'omuwemba, naye nga langi yaabwo njeru, ya mataatata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emmaanu yaliŋŋanga ensigo za jaada, n'ekifaananyi kyayo ng'ekifaananyi kya bedola.