Numbers 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekire bwe kyava ku Weema, okutunula ku Miriyamu nga yenna apeeruuse ekigenge, mweru ng'omuzira. Aroni bwe yakebuka n'alaba ng'ekigenge kimubunye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekire ne kiva waggulu ku weema; era laba, Miryamu ng'aliko ebigenge, ng'atukula ng'omuzira. Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, nga agengewadde!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekire ne kiva ku Weema. Okutemya n'okuzibula, Miriyamu n'alwalirawo endwadde y'olususu etiisa, n'ayeruka ng'omuzira. Arooni bwe yakyuka n'atunula ku Miriyamu, n'alaba nga Miriyamu akwatiddwa endwadde y'olususu etiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekire ne kiva waggulu ku Weema; era laba, Miryamu n'abaako ebigenge, ng'omuzira: Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, ng'aliko ebigenge.