Numbers 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Musa nti: “Ssebo, nkwegayiridde, totussaako kibi kino, twakikozezza busiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'agamba Musa nti, “Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era tukoze ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Musa nti: “Ayi mukama wange, nkwegayiridde, ekibi ekyo kitusonyiwe. Bye tukoze bya busirusiru, era gutusinze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'agamba Musa nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era nga tukoze ekibi.