Numbers 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amwanukula nti: “Singa kitaawe yamuwandulidde amalusu mu maaso, teyandimaze kiryose ennaku musanvu nga si mulongoofu? Mumumaze ennaku musanvu ng'ali bweru wa lusiisira, oluvannyuma akomezebwewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “ Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale asibirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggalirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde ennaku musanvu? asibirwe ebweru w'olusiisira ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate.