Numbers 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: “Omukama yayogerera mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Omukama n'akiwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Mazima ddala Mukama yayogerera mu Musa yekka? Tayogerera mu ffe?” Mukama n'abiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Mukama ayogera ng'ayita mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Mukama n'awulira kye boogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? era teyayogera naffe? Mukama n'abiwulira.