Numbers 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Muwulire bye ŋŋamba: “Mu mmwe bwe mubaamu omulanzi w'Omukama, mmweraga mu kulabikirwa; njogera naye mu birooto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange: “Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Muwulire nno ebigambo byange; mummwe bwe munaabangamu nnabbi, neeyolekanga gy'ali mu kwolesebwa oba nnaayongeranga naye mu kirooto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Muwulire kye ŋŋamba. Bwe wabaawo omulanzi mu mmwe, Nze Mukama mmweyolekera mu kulabikirwa, era njogera naye mu birooto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Muwulire nno ebigambo byange: oba nga munaabanga mu mmwe nabbi, nze Mukama neetegeezanga gy'ali mu kwolesebwa, naayogerereranga naye mu kirooto.