Numbers 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
So si bwe kiri ku muweereza wange Musa, mwesigwa mu nnyumba yange yonna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa; mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eri omuddu wange Musa si bwe kiri bwe kityo; oyo nnamukwasa ennyumba yange yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ku muweereza wange Musa, si bwe kiri. Sirina kye mmukisa, kubanga mwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu wange Musa si bw'ali bw'atyo; oyo mwesigwa mu nnyumba yange yonna: