Numbers 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ye njogera naye maaso ku maaso, njogera naye kyere sso si mu ngero; Omukama amulabira ddala bw'afaanana. Lwaki nno temwatidde kukolokota muweereza wange Musa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo njogera naye maaso n'amaaso, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'enfaanana yange agiraba. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muddu wange Musa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye njogera naye nga tutunuuliganye maaso na maaso, era butereevu sso si mu ngero. Era ye yali alabye ne bwe nfaanana. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muweereza wange oyo Musa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo naayogeranga naye akamwa n'akamwa, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'okufaanana kwa Mukama anaakulabanga: kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku muddu wange, ku Musa?