Numbers 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ago ge mannya g'abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta ensi. Musa n'awa Ozeya mutabani wa Nuunu erinnya eddala erya Yoswa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya, mutabani wa Nuuni, Yoswa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo. Musa n'atuuma Hoseya, mutabani wa Nuuni, erinnya Yoswa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya mutabani wa Nuuni Yoswa.