Numbers 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abasindika okuketta ensi Kanaani, n'abagamba nti: “Mwambuke nga muyita mu Negevu mutuukire ddala mu nsi ey'ensozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani n'abagamba nti, “Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiikaddyo mulinnye ku nsozi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abatuma okuketta ensi ye Kanaani. N'abagamba nti: “Mwambuke, muyite mu nsi enkalu, mweyongereyo mu nsozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani, n'abagamba nti Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiika obwa ddyo, mulinnye ku nsozi