Numbers 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensi yennyini mwe bali efaanana etya, nnungi oba mbi; ebibuga mwe basula bifaanana bitya, bya nsiisira oba bigo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga bigo ebigumu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe oba ng'ensi eyo gye balimu nnungi oba nga mbi. Mwetegereze oba nga babeera mu nsiisira, oba mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga mu bigo;