Numbers 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Sindika abasajja bakette ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayeli; mu buli kika kya bajjajjaabwe olondamu omu ku bakulu baabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gyempa abaana ba Isiraeri: onooggya omuntu omu, omukulembeze mu buli kika omutume.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tuma abantu bagende bakette ensi y'e Kanaani gye mpa Abayisirayeli. Munaatuma omuntu omu okuva mu buli kika, era omuntu oyo nga mukulembeze mu kika kye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gye mpa abaana ba Isiraeri: munaggya omuntu ku buli kika kya bakitaabwe ne mumutuma, buli muntu omukulu mu bo.