Numbers 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayambuka, ne bekkaanya ensi okuva ku ddungu ly'e Zini okutuuka e Lekobu ku kkubo eriraga e Kamati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva mu ddungu lya Zini, Lekobu, n'okutuusa w'oyingirira e Kamasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bambuka ne baketta ensi eyo, okuva ku ddungu ly'e Ziini okutuuka e Rehobu awayingirirwa e Hamati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva ku ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu, okutuusa w'oyingirira e Kamasi