Numbers 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayambukira mu Negevu, ne batuuka e Keburoni awaali Akimani, Sesayi ne Talumayi batabani ba Anaki. Keburoni yali yaakamala emyaka musanvu nga mukube Zowani, ekibuga ky'e Misiri, okukubibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bambukira mubukiikaddyo obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era abaana ba Anaki: Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi baali babeera eyo. Kebbulooni kyali kyakamala emyaka musanvu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba ne Zowani ekiri mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bambuka ne bayita mu nsi enkalu, ne batuuka mu Heburooni. Eyo nno Abahimani, n'Abasesayi, n'Abatalumayi, bazzukulu ba Anaki gye baali. (Heburooni kyali kimaze emyaka musanvu nga kizimbiddwa, ne Zowani eky'e Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bambukira obukiika obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi, abaana ba Anaki, baali bali eyo. (Era Kebbulooni kyali kyakamaze emyaka musaavu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba Zowani ekiri mu Misiri