Numbers 13:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka mu Kiwonvu kya Esukoli ne batema ettabi ly'omuzabbibu n'ekirimba kyakwo kimu, abasajja babiri ne balyetikka ku musituliro omu eno n'omulala eri. Era baanogako ku makomamawanga n'entontogolo z'emikunyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakessi ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'ezabbibu, abantu babiri ne bakisitulira ku misituliro, era ne baleetayo ne ku makomamawanga ne ku ttiini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batuuka mu Kiwonvu ky'Ekirimba, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'emizabbibu, abantu babiri balamba ne bakireeta nga bakisitulidde ku muti. Ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku bibala by'emitiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, ne bakisitulira ku musituliro abantu babiri; era baaleeta ne ku makomamawanga, ne ku ttiini.