Numbers 13:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja eri Musa, Aroni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani. Ne bababuulira n'ekibiina kyonna ebintu nga bwe byagenda, ne babalaga ebibala by'omu nsi eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakomawo eri Musa ne Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu ddungu lye Palani, e Kadesi; ne bababuulira byonna bye baalaba, ne babalaga n'ebibala by'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani, ne babategeeza bye baalaba, ne babalaga ebibala bye baaleta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka ne bajja eri Musa n'eri Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, mu ddungu lya Palani, e Kadesi; ne babaddiza ebigambo bo n'ekibiina kyonna, ne babalaga ebibala by'ensi.