Numbers 13:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne bamugamba nti: “Twatuuka mu nsi gye mwatutuma, mu mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; bino bye bibala byayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bababuulira nti, “Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne battottolera Musa nti: “Twatuuka mu nsi gye watutumamu. Mazima nsi ngimu era ngagga, era bino bye bibala byamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamubuulira ne bagamba nti Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.