Numbers 13:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu baayo ba maanyi, n'ebibuga biriko ebigo ebinene ennyo. Twalabayo abasibuka mu Anaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu abatuula mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe biriko enkomera, binene nnyo: era twalabayo n'abaana ba Anaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ababeera mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe binene nnyo era biriko ebigo ebigumu. N'ekirala, twalabayo bazzukulu ba Anaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu abatuula mu nsi ba maanyi, n'ebibuga biriko enkomera, binene nnyo: era nate twalabayo abaana ba Anaki.