Numbers 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akola Omukama kye yali amulagidde, n'ayima mu ddungu ly'e Parani n'asindika abasajja abakulu b'abantu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lye Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali; abasajja bonna abaali abakulembeze be bika by'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bali mu ddungu ly'e Parani, Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. N'atuma abasajja nga bonna bakulembeze ba bika by'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lya Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali: bonna abasajja abaali emitwe gy'abaana ba Isiraeri.